×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 53

1
Abasirusiru bagamba mu mitima gyabwe nti: “Tewali Katonda.” Boonoonese, bakoze ebibi ebyenyinyalwa, tewali n'omu akola kirungi.
2
Katonda asinziira mu ggulu n'atunuulira abantu, alabe oba nga waliwo abategeera, oba nga waliwo abamunoonya.
3
Naye bonna bamuvuddeko. Bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati.
4
Abakola ebibi tebalina magezi? Bakavvula abantu bange ng'abalya emmere, era tebasinza Katonda.
5
Naye balitya nnyo, mu ngeri gye baali tebatyangamu, kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abo abazingiza abantu be. Olibawangula ne baswala, kubanga Katonda yababoola.
6
Singa nno oyo aliwonya Yisirayeli alisinziira mu Siyooni! Katonda bw'alizzaawo embeera ennungi mu bantu be, aba Yakobo balisanyuka, Abayisirayeli balijaguza.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes