×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 53

1
Eri omuyimbisa. Lugenda nga Makalati. Masukili ya Dawudi.
2
Omusiru agamba mu mutima gwe nti: “Katonda taliiwo.” Boonoonefu, n'ebikolwa byabwe byenyinyalwa; tewali akola kirungi.
3
Katonda ayima mu ggulu n'atunula wansi ku baana b'abantu, alabe oba mulimu ategeera, anoonya Katonda.
4
Bonna bawabye, bonna wamu boonoonese; tewali akola kirungi, newandibadde omu ati.
5
Abakola obubi tebaliyiga, abo abakavvula abantu bange ng'abalya omugaati, abatawanjagira Katonda?
6
Baabo, batidde ebitatiika, awatali na kitiisa. Kubanga Katonda yasaasaanya amagumba g'abaali bakuzinze; Katonda yabaswaza, kubanga yabanyooma.
7
Singa nno Yisirayeli afunye obulokofu okuva mu Siyoni. Katonda bw'alizza abantu be okuva mu busibe, Yakobo alisagambiza ne Yisirayeli alisanyuka.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya