Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo; tewali n’omu akola kirungi. |
| 2 |
| Katonda atunuulira abaana b’abantu ng’asinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya. |
| 3 |
| Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali n’omu. |
| 4 |
| Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere; so tebakoowoola Katonda. |
| 5 |
| Balitya okutya okutagambika; kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be. Baliswazibwa kubanga Katonda yabanyooma. |
| 6 |
| Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni, Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be, Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/053.mp3
150
53