EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Bavunze, bakoze ebibi eby'omuzizo; Tewali n'omu akola bulungi. |
| 2 |
| Katonda atunuulira abaana b'abantu ng'asinziira mu ggulu, Alabe oba nga waliwo abategeera, Abanoonya Katonda. |
| 3 |
| Buli muntu mu bo azze emabega amuvuddeko; bonna awamu bagwagwawadde; Tewali akola bulungi, tewali n'omu. |
| 4 |
| Abakola obubi tebalina magezi, Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Era tebasinza Katonda? |
| 5 |
| Awatali kitiisa we batiira ennyo, okutya okutabangawo! Kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abatali batuukirivu; Balikwatibwa ensonyi, kubanga Katonda yabagaana. |
| 6 |
| Singa obulokozi bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/053.mp3
150
53