Luganda Bible
|
| 1 |
| Ndokola, ai Katonda, n'erinnya lyo, Onsalire omusango mu maanyi go. |
| 2 |
| Wulira okusaba kwange, ai Katonda; Otege okutu eri ebigambo eby'akamwa kange. |
| 3 |
| Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange: Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera) |
| 4 |
| Laba, Katonda ye mubeezi wange: Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange. |
| 5 |
| Aliwalana obubi obwo ku balabe bange: Obazikirize mu mazima go. |
| 6 |
| Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe: Neebazanga erinnya lyo, ai Mukama, kubanga ddungi. |
| 7 |
| Kubanga anziye mu kweraliikirira kwonna; N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/054.mp3
150
54