×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 54

1
Ayi Katonda, ndokola n'obuyinza bwo, mponya n'amaanyi go.
2
Wulira kye nsaba, ayi Katonda, wuliriza bye njogera.
3
Abeekulumbaza bazze okunnumba, abakambwe baagala okunzita. Tebafa ku Katonda.
4
Naye Katonda ye annyamba Mukama ye awanirira obulamu bwange.
5
Alibonereza abalabe bange, ebibi byabwe bibaddire.
6
Ayi Mukama, ndikuwa ekitambiro nga nsanyuka, ndikwebaza kubanga oli mulungi.
7
Onzigye mu bizibu byange byonna, era ndabye abalabe bange nga bawanguddwa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes