Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango. |
| 2 |
| Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange. |
| 3 |
| Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita. |
| 4 |
| Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange. |
| 5 |
| Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo. |
| 6 |
| Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi. |
| 7 |
| Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/054.mp3
150
54