EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ndokola, Ayi Katonda, olw'erinnya lyo, Onzigyeko omusango olw'amaanyi go. |
| 2 |
| Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda; Otege okutu kwo eri ebigambo eby'omukamwa kange. |
| 3 |
| Kubanga bannamawanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange; Tebateeka Katonda mu maaso gaabwe. |
| 4 |
| Laba, Katonda ye mubeezi wange; Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange. |
| 5 |
| Aliwalana obubi obwo ku balabe bange: Obazikirize mu mazima go. |
| 6 |
| Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe; Nneebazanga erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi. |
| 7 |
| Kubanga anzigye mu kweraliikirira kwonna; N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuka ku balabe bange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/054.mp3
150
54