|
| 1 |
|
| Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange. |
|
| 2 |
|
| Mpulira, onziremu: Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda; |
|
| 3 |
|
| Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi, Era banjigganya mu busungu. |
|
| 4 |
|
| Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko. |
|
| 5 |
|
| Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye. |
|
| 6 |
|
| Ne njogera nti Singa mbadde n’ebiwaawaatiro ng'ejjiba Nandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula. |
|
| 7 |
|
| Laba, nandikyamidde wala, Nandisuze mu ddungu. (Seera) |
|
| 8 |
|
| Nandyanguye okudduka mu kiddukiro Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi. |
|
| 9 |
|
| Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga. |
|
| 10 |
|
| Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo: Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo. |
|
| 11 |
|
| Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo. |
|
| 12 |
|
| Kubanga omulabe si ye yanvuma; Nandiyinzizza okugumiikiriza: So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; Nandyekwese mu maaso ge: |
|
| 13 |
|
| Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo. |
|
| 14 |
|
| Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina. |
|
| 15 |
|
| Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati. |
|
| 16 |
|
| Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga. |
|
| 17 |
|
| Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyange. |
|
| 18 |
|
| Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi. |
|
| 19 |
|
| Katonda aliwulira, alibaddamu, ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera) Alibaddamu abo abatalaba biggya, Abatatya Katonda. |
|
| 20 |
|
| Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye: Yanyooma endagaano ye. |
|
| 21 |
|
| Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu. |
|
| 22 |
|
| Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna. |
|
| 23 |
|
| Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe. |
|
|
|
|