×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 55

1
Ayi Katonda, wulira okusaba kwange, togoba kwegayirira kwange.
2
Ompulirize onziremu, ebizibu byange binkooyezza.
3
Okuleekaana kw'abalabe n'okuyigganyizibwa ababi bintiisizza, kubanga bankolako obulabe, bansunguwalidde era bankyaye.
4
Nzijudde obuyinike, ekikangabwa ky'okufa kintiisizza.
5
Okutya n'okukankana binkutte, ekyekango kintekemudde.
6
Era ŋŋamba nti: “Singa mbadde n'ebiwaawaatiro ng'ejjiba, nandibuuse ne nnoonya gye mpummulira.
7
Nandibuuse ne ŋŋenda wala, ne mbeera eyo mu ddungu.
8
Nandizudde mangu we nneewogoma, ne mpona empewo ennyingi n'omuyaga.”
9
Ayi Mukama, zikiriza olulimi lwabwe, otabuletabule bye boogera, kubanga ndaba eby'obukambwe n'okuyombagana mu kibuga.
10
Emisana n'ekiro beetooloola ebisenge byakyo, ne bakijjuza ebikolwa ebibi n'emitawaana.
11
Boonoona ebintu mu kibuga, enguudo zaakyo tezibulamu bya kulumya bantu na bya bukuusa.
12
Singa omulabe ye anvuma, nandiyinzizza okugumiikiriza. Singa oyo ankyaye ye anneewulirirako, nandimwekwese.
13
Naye akola ekyo ye ggwe munnange, mukwano gwange bwe tuyita.
14
Twanyumyanga ffembi emboozi ey'akafubo twasinzizanga wamu mu nnyumba ya Katonda.
15
Okufa kutuuke ku balabe bange nga tebakulindiridde. Bakke emagombe nga bakyali balamu, kubanga ekibi kiri mu maka gaabwe ne mu mitima gyabwe.
16
Naye nze mpita Katonda annyambe, Mukama ajja kundokola.
17
Ku makya, mu ttuntu n'akawungeezi neemulugunya nga nsinda. Ajja kuwulira eddoboozi lyange.
18
Alinkomyawo mirembe mu lutalo, lwe nnwana n'abalabe abangi.
19
Katonda eyafuga okuva emirembe gyonna aliwulira n'abawangula, kubanga tebakyukako, era tebatya Katonda.
20
Eyali munnange yalumbagana mikwano gye, n'amenya endagaano gye yakola.
21
Ebigambo bye byali bigonvu okusinga omuzigo, naye byali bitala ebyogi, nga ky'alina mu mutima gwe, lwe lutalo.
22
Ebizibu byo bikwasenga Mukama, anaakuyambanga. Taalekenga bantu beesigwa kuwangulwa.
23
Naye ggwe ayi Mukama, abantu abatemu n'abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebannagituusa na wakati. Naye nze nnaakwesiganga.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes