|
| 1 |
|
| Tega okutu eri okusaba kwange, Ayi Katonda; So teweekweka obutawuliriza kwegayirira kwange. |
|
| 2 |
|
| Mpulira, onziremu; Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda; |
|
| 3 |
|
| Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bandeetako emitawaana, Era banjigganya mu busungu. |
|
| 4 |
|
| Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko. |
|
| 5 |
|
| Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye. |
|
| 6 |
|
| Ne njogera nti Singa mbadde n'ebiwaawaatiro ng'ejjiba! Nnandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula. |
|
| 7 |
|
| Laba, nandikyamidde wala, Nnandisuze mu ddungu. |
|
| 8 |
|
| Nnandyanguye okudduka ne nneewogoma, Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi. |
|
| 9 |
|
| Bazikirize, Ayi Mukama, oyawule ennimi zaabwe; Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga. |
|
| 10 |
|
| Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo; Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo. |
|
| 11 |
|
| Okwonoona kuli wakati mu kyo; Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo. |
|
| 12 |
|
| Singa omulabe yanjiganya; Nnandiyinzizza okugumiikiriza; So singa oyo eyankyawa yanneegulumirizaako; Nnandyekwese mu maaso ge. |
|
| 13 |
|
| Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambulanga nange, mukwano gwange gwe nnamanyiira ennyo. |
|
| 14 |
|
| Twateesanga ebigambo n'essanyu ffembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina. |
|
| 15 |
|
| Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu; Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati. |
|
| 16 |
|
| Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga. |
|
| 17 |
|
| Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu nneemulugunyanga ne nsindanga; Naye anaawuliranga eddoboozi lyange. |
|
| 18 |
|
| Anaanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga, Kubanga abaali balwana nange bangi. |
|
| 19 |
|
| Katonda aliwulira, n'abakakanya, Ye oyo eyaatikirwa edda n'edda lyonna, kubanga tebakuuma mateeka, era tebatya Katonda. |
|
| 20 |
|
| Eyali munnange yagolola emikono gye ku mikwano gye, Yamenya endagaano gye yakola. |
|
| 21 |
|
| Okwogera kwe kwali kugonvu ng'omuzigo, So nga olutalo lwali mu mutima gwe; Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, So nga byali bitala ebisowoddwa. |
|
| 22 |
|
| Teekanga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga; Taaganyenga abatuukirivu okuwangulwa ennaku zonna. |
|
| 23 |
|
| Naye ggwe, Ayi Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira; Abantu abaagala omusaayi n'abo abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebanagituusa na wakati; Naye nze nneesiganga ggwe. |
|
|
|
|