×

Luganda Bible

Zabbuli 56

1
Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
2
Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.
3
Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe.
4
Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
5
Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi.
6
Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
7
Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
8
Ggwe obala okutambulatambula kwange: Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
9
Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange.
10
Mu Katonda nditendereza ekigambo kye: Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11
Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki?
12
Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda: Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe.
13
Kubanga wawonya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes