×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 56

1
Nkwatirwa ekisa ayi Katonda, kubanga abantu bannumba. Abalabe banjigganya olunaku lwonna.
2
Abalabe bange bannumba okuva enkya okuzibya obudde. Abeekulumbaza bangi abannwanyisa.
3
Buli lwe ntya, neesiga ggwe.
4
Katonda gwe neesiga, siritya. Mmutendereza olw'ebyo by'asuubiza. Abantu obuntu bayinza kunkola ki?
5
Olunaku lwonna abalabe bange bateesa bya kunnumya. Kye balowooza bulijjo kwe kunkolako obulabe.
6
Beekuŋŋaanya ne beekweka, ne baketta buli kye nkola nga bateega okunzita.
7
Ayi Katonda, babonereze olw'ebibi byabwe. Mu busungu bwo, wangula abantu abo.
8
Ggwe omanyi nga bwe ntawaanyizibwa. Teeka amaziga gange mu ccupa yo. Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?
9
Ku lunaku lwe ndikukoowoola, abalabe bange balizzibwayo emabega. Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10
Katonda mmutendereza olw'ebyo by'asuubiza.
11
Katonda gwe neesiga, siritya. Abantu obuntu bayinza kunkola ki?
12
Ayi Katonda, ndituukiriza byonna bye nkusuubizza. Ndikuwa ebirabo olw'okukwebaza,
13
kubanga omponyezza okufa, n'ompanirira obutagwa, ntambulire mu maaso ga Katonda, mu kitangaala ekyakira abalamu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes