Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya; buli lunaku bannumba n’amaanyi. |
| 2 |
| Abalabe bange bannondoola, bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala. |
| 3 |
| Buli lwe ntya, neesiga ggwe. |
| 4 |
| Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye, ye Katonda gwe neesiga; siityenga. Abantu obuntu bagenda kunkolako ki? |
| 5 |
| Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula; ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi. |
| 6 |
| Beekobaana ne bateesa, banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange; nga bannindirira banzite. |
| 7 |
| Tobakkiriza kudduka ne bawona; mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga. |
| 8 |
| Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika. |
| 9 |
| Bwe nkukoowoola, abalabe bange nga badduka. Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange. |
| 10 |
| Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye; Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye; |
| 11 |
| Katonda oyo gwe neesiga, siityenga. Abantu bayinza kunkolako ki? |
| 12 |
| Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda; ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza. |
| 13 |
| Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa. Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala; ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda mu musana nga ndi mulamu? |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/056.mp3
150
56