EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Onsaasire, Ayi Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze; Bazibya obudde nga balwana, nga banjooga. |
| 2 |
| Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba; Kubanga bangi bannwanyisa n'amalala. |
| 3 |
| Buli lwe nnaatyanga, Nneesiganga ggwe. |
| 4 |
| Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu obuntu bayinza kunkola ki? |
| 5 |
| Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde; Ebirowoozo byabwe byonna bya kunkolako bulabe. |
| 6 |
| Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange. |
| 7 |
| Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu bwo suula amawanga, Ayi Katonda! |
| 8 |
| Ggwe omanyi ennaku yange; Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko! Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo? |
| 9 |
| Abalabe bange ne balyoka bazzibwa emabega ku lunaku lwe ndikukoowooleramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku ludda lwange |
| 10 |
| Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Mu Mukama nditendereza ekigambo kye. |
| 11 |
| Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki? |
| 12 |
| Ebirayiro byo biri ku nze, Ayi Katonda; Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza gyoli. |
| 13 |
| Kubanga wawonya emmeeme yange okufa, Owonyeezza ebigere byange okwesittala. Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda Mu musana ogw'abantu abalamu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/056.mp3
150
56