×

Luganda Bible

Zabbuli 57

1
Onsaasire, ai Katonda, onsaasire; Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, Okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo.
2
Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo; Katonda ankolera byonna.
3
Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Oyo ayagala okummira bw'anvuma; (Seera) Katoada alituma okusaasira kwe n'amazima ge.
4
Emmeeme yange eri mu mpologoma; Ngalamidde mu abo abaaka n'omuliro, Be baana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale, N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi:
5
Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
6
Bateekeddeteekedde akatimba ebigere byange; Emmeeme yange ekutamye: Bansimidde obunnya mu kkubo lyange; Babuguddemu wakati bo bennyini. (Seera)
7
Omutima gwange gunywedde, ai Katonda, omutima gwange gunywedde: Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza.
8
Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga: Nze nzekka naazuukuka enkya mu matulutulu.
9
Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu: Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga.
10
Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, N'amazima go gatuuka mu bbanga.
11
Bakugulumize, ai Katonda, Okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes