×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 57

1
Nkwatirwa ekisa, ayi Katonda, nkwatirwa ekisa, kubanga nzirukira gy'oli. Nzirukira mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo, okutuusa obucwano lwe buliggwaawo.
2
Nkoowoola Katonda Atenkanika, Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3
Alisinziira mu ggulu eyo n'andokola, aliwangula abandoobya. Katonda alindaga ekisa kye, alindaga bwe yeesigibwa.
4
Ndi mu mpologoma wakati ez'amaddu ezikavvula abantu. Amannyo gazisongodde ng'obusaale n'amafumu. Ennimi zaazo kye kitala ekyogi.
5
Gulumizibwa okusinga eggulu, ayi Katonda, ekitiibwa kyo kibune ensi zonna.
6
Abalabe bange bateze ekitimba bankwase, obuyinike bumpese! Basimye obunnya mu kkubo lyange, naye bo bennyini be babuguddemu.
7
Omutima gwange mugumu, ayi Katonda, omutima gwange mugumu, nnaayimba ne nkutendereza.
8
Zuukuka ggwe mwoyo gwange, zuukuka ggwe entongooli! Oli ludda wa ggwe ennanga? Ŋŋenda okuzuukusa emmambya!
9
Nnaakwebaza, ayi Mukama nga ndi mu bantu. Nnaayimba ne nkutenderereza mu mawanga.
10
Ekisa kyo kigulumivu okutuuka ku ggulu. Obwesigwa bwo butuuka ne ku bire.
11
Gulumizibwa okusinga eggulu, ayi Katonda, ekitiibwa kyo kibune ensi zonna.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes