Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma. |
| 2 |
| Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo, Katonda atuukiriza bye yantegekera. |
| 3 |
| Alisinzira mu ggulu n’andokola, n’amponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo. |
| 4 |
| Mbeera wakati mu mpologoma, nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu. Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale. Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi. |
| 5 |
| Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna. |
| 6 |
| Baatega ekitimba mu kkubo lyange, ne ntya nnyo; ne basimamu obunnya, ate bo bennyini ne babugwamu. |
| 7 |
| Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga n’ennyimba. |
| 8 |
| Zuukuka, ggwe omwoyo gwange! Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli, ndyoke nnyimbe okukeesa obudde. |
| 9 |
| Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga; ndiyimba nga nkutendereza mu bantu. |
| 10 |
| Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire. |
| 11 |
| Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/057.mp3
150
57