EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire; Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, Okutuusa amayengo agazikiriza nga gaayiseewo. |
| 2 |
| Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo; Katonda atuukiriza byonna bye yantegekera. |
| 3 |
| Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Aliswaza abo abaagala okummira; Katonda alituma okusaasira kwe n'amazima ge! |
| 4 |
| Ngalamidde wakati mu mpologoma; Ezaagala okummira abaana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale, N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi. |
| 5 |
| Bakugulumize, Ayi Katonda, okusinga eggulu! Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna. |
| 6 |
| Bateekeddeteekedde ebigere byange akatimba; Emmeeme yange ejjudde obuyinike. Bansimidde obunnya mu kkubo lyange; Naye bo bennyini babuguddemu. |
| 7 |
| Omutima gwange gunywedde, Ayi Katonda, omutima gwange gunywedde! Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza! |
| 8 |
| Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga! Nze nzekka n'azuukuka enkya mu matulutulu. |
| 9 |
| Ndikwebaliza ggwe, Ayi Mukama, mu bantu; Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga. |
| 10 |
| Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, N'amazima go gatuuka mu bire. |
| 11 |
| Bakugulumize, Ayi Katonda, okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/057.mp3
150
57