×

Luganda Bible

Zabbuli 58

1
Okwogera mwogera eby'obutuukirivu nga musirika? Musala omusango ogw'amazima, mmwe abaana ba bantu?
2
Naye mu mitima gyammwe mukola eby'obubi; Ettima ery'emikono gyammwe gwe musango gwe musala mu nsi.
3
Ababi bakyama okuva mu lubuto: Bwe bazaalibwa, amangu ago ne beekooloobya, nga boogera eby'obulimba.
4
Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota: Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo;
5
Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.
6
Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe: Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, ai Mukama.
7
Basaanuuke ng'amazzi agakulukuta amangu: Bw'ateeba n'obusaale bwe, babe nga bazikirizibwa.
8
Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo: Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana.
9
Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Aligaggirawo ddala n'embuyaga, amabisi n'ago agaaka gonna.
10
Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo: Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.
11
Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa: Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes