Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mmwe abafuzi, musala bulungi emisango? Abantu mubalamula mu bwenkanya? |
| 2 |
| Nedda! Mulowooza ku kukola bibi. Mukola bya bukambwe mu nsi. |
| 3 |
| Ababi bazaalibwa nga babi, obulimba babutandika nga bato. |
| 4 |
| Bajjudde obusagwa ng'obw'omusota, bali nga ssalambwa eritawulira, erizibikira amatu gaalyo, |
| 5 |
| ne litawulira ddoboozi lya mukwasi wa misota, oba ery'omulozi omukugu. |
| 6 |
| Ayi Katonda, bakuulemu amannyo, menya amannyo, ayi Mukama, ag'empologoma ezo enkambwe. |
| 7 |
| Baggweewo ng'amazzi agakulukuta, bawotoke ng'omuddo ogulinnyirirwa. |
| 8 |
| Babe ng'ekkovu erisaanuuka, babe ng'omwana omusowole atalaba ku kitangaala. |
| 9 |
| Balimibwewo ng'omuddo, nga tebannamanya. Katonda abasunguwalire nnyo, abasaanyeewo nga balaba. |
| 10 |
| Abatuukirivu balyesiima bwe baliraba aboonoonyi bwe babonerezebwa. Balirinnya mu musaayi gw'ababi. |
| 11 |
| Abantu baligamba nti: “Ddala abatuukirivu bafuna empeera. Ddala Katonda waali, asala omusango mu nsi!” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/058.mp3
150
58