Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi? Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya? |
| 2 |
| Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe; era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi. |
| 3 |
| Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa, bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba. |
| 4 |
| Balina obusagwa ng’obw’omusota; bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo; |
| 5 |
| n’etawulira na luyimba lwa mukugu agisendasenda okugikwata. |
| 6 |
| Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe; owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama. |
| 7 |
| Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda. Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale. |
| 8 |
| Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo. Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba! |
| 9 |
| Nga n’entamu tennabuguma, alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo. |
| 10 |
| Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga, olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi. |
| 11 |
| Awo abantu bonna balyogera nti, “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa. Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/058.mp3
150
58