EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mulagira ebituufu mwe ba katonda? Mulamula abaana b'abantu mu mazima? |
| 2 |
| Nedda naye mu mitima gyammwe mulowooza kukola bubi; N'emikono gyammwe mukola bya ttima mu nsi. |
| 3 |
| Ababi bakyama nga bakyali mu lubuto, Baasobya okuva mu buto bwabwe, nga boogera eby'obulimba. |
| 4 |
| Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota, Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo; |
| 5 |
| Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya. |
| 6 |
| Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe; Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, Ayi Mukama! |
| 7 |
| Baggweewo ng'amazzi agakulukuta amangu; Ng'omuddo balinnyirirwe, bawotoke, babe nga bazikirizibbwa. |
| 8 |
| Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo, Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana. |
| 9 |
| Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Oba ga kiragala, oba g'akwokebwa, gonna agasaanyewo! |
| 10 |
| Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi. |
| 11 |
| Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa; Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/058.mp3
150
58