|
| 1 |
|
| Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange: Ongulumize eri abo abangolokokerako. |
|
| 2 |
|
| Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi. |
|
| 3 |
|
| Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama. |
|
| 4 |
|
| Baddukana, beeteekateeka nga sikoze bubi: Ozuukuke onnyambe, olabe. |
|
| 5 |
|
| Ggwe, ai Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obuulirire amawanga gonna: Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. (Seera) |
|
| 6 |
|
| Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng'embwa, Beetooloola ekibuga. |
|
| 7 |
|
| Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe: Kubanga boogera nti Ani awulira? |
|
| 8 |
|
| Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna. |
|
| 9 |
|
| Ai amaanyi gange, naakulindiriranga ggwe: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu. |
|
| 10 |
|
| Katonda ow'okusaasirwa kwange anankulemberanga: Katonda anandabyanga bye njagala nga bituuse ku balabe bange. |
|
| 11 |
|
| Tobatta, abantu bange baleme okwerabira: Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ai Mukama engabo yaffe. |
|
| 12 |
|
| Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera. |
|
| 13 |
|
| Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate: Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera) |
|
| 14 |
|
| Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga. |
|
| 15 |
|
| Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta. |
|
| 16 |
|
| Naye nze naayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya: Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange. |
|
| 17 |
|
| Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange. |
|
|
|
|