Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange, ntaasa abannumba. |
| 2 |
| Mponya abakola ebibi, ntaasa abatemu, |
| 3 |
| kubanga laba, banteeze banzite. Ab'amaanyi beekobye okunnumba nga sirina kibi na musango, ayi Mukama. |
| 4 |
| Beetegeka bannumbe, nze atalina musango. Jjangu olabe, yanguwa onnyambe. |
| 5 |
| Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, ggwe Katonda wa Yisirayeli. Jjangu obonereze amawanga gonna tosaasira n'omu ow'enkwe ateesa okukola ebibi. |
| 6 |
| Bakomawo buli kawungeezi nga bakaaba ng'embwa, ne beetooloola ekibuga. |
| 7 |
| Baabo bavuma era batiisatiisa, olulimi lubali ng'ekitala mu kamwa kaabwe. Balowooza nti tewali abawulira. |
| 8 |
| Naye ggwe ayi Mukama, obasekerera, osunga abantu bonna ab'ensi. |
| 9 |
| Amaanyi go ge neesiga, gy'oli gye nzirukira, ayi Katonda. |
| 10 |
| Katonda wange anjagala, era alinsisinkana, n'andabisa abalabe bange nga bawanguddwa. |
| 11 |
| Tobatta, ayi Katonda, sikulwa ng'abantu bange beerabira. Basaasaanye n'amaanyi go, obawangule, ayi ggwe Katonda atutaasa ng'engabo. |
| 12 |
| Okwogera ebibi tekubava ku mimwa. Bakwatibwe mu kwekulumbaza kwabwe olw'okukolima n'olw'okulimba kwabwe. |
| 13 |
| Ggwe bazikirize mu busungu bwo, bazikirize baggweerewo ddala, abantu bonna balyoke bamanye nti Katonda ye afuga mu Yisirayeli, ne mu mawanga gonna ku nsi. |
| 14 |
| Bakomawo buli kawungeezi nga bakaaba ng'embwa ne beetooloola ekibuga. |
| 15 |
| Babungeeta nga banoonya ebyokulya, ne bawoggana nga tebafunye bimala. |
| 16 |
| Naye nze nnaayimbanga okutenda amaanyi go. Buli nkya nnaayimbanga okutenda ekisa kyo, kubanga obadde kiddukiro kyange, mwe nneekweka nga ndi mu buzibu. |
| 17 |
| Nnaayimbanga okukutendereza ggwe antaasa, kubanga ggwe ayi Katonda, onjagala, era ggwe kiddukiro kyange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/059.mp3
150
59