×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 59

1
Ondokole mu balabe bange, Ayi Katonda wange, Onkuume eri abo abangolokokerako.
2
Ondokole eri abo abakola ebitali bya butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi.
3
Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba. Si lwa kwonoona kwange, wadde ekibi kyange, Ayi Mukama.
4
Badduka, nga beeteekateeka okunnumba nga sikoze bubi. Ozuukuke olabe onnyambe!
5
Ggwe, Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obonereze amawanga gonna; Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi.
6
Bakomawo buli kawungeezi, nga bakaaba ng'embwa, ne beetooloola ekibuga.
7
Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe, Kubanga boogera nti Ani anatuwulira?
8
Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna.
9
Ayi amaanyi gange, nnaakulindiriranga ggwe; Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu.
10
Katonda wange mu kusaasira kwe anansinsinkana; Katonda anandabisa bye njagala nga bituuka ku balabe bange.
11
Tobatta, ayi Katonda, abantu bange baleme okwerabira; Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ayi Mukama ggwe engabo yaffe!
12
Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera.
13
Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate, Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi.
14
Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga.
15
Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta.
16
Naye nze nnaayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, nnaayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya. Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.
17
Ggwe, Ayi amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza, Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda andaga okusaasira kwe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes