Luganda Bible
|
| 1 |
| Ai Mukama; tonnenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka. |
| 2 |
| Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala: Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde. |
| 3 |
| Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo: Naawe, ai Mukama, olituusa wa? |
| 4 |
| Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange: Omponye olw'ekisa kyo: |
| 5 |
| Kubanga tewali akujuukirira mu kufa: Ani alikwebaliza mu magombe? |
| 6 |
| Okusinda kwange kunkooyezza; Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange; Ekitanda kyange nkitobya n'amaziga. |
| 7 |
| Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala; Likaddiye olw'abalabe bange bonna. |
| 8 |
| Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu; Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly'okukaaba kwange. |
| 9 |
| Mukama awulidde okwegayirira kwange; Mukama anakkirizanga okusaba kwange. |
| 10 |
| Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo: Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/006.mp3
150
6