Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde, era tombonereza ng'okambuwadde. |
| 2 |
| Nsaasira ayi Mukama, kubanga amaanyi gampweddemu. Ayi Mukama, mponya, kubanga amagumba gankubagana. |
| 3 |
| Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo. Naye ayi Mukama, olimala bbanga ki nga tonnannyamba? |
| 4 |
| Komawo ayi Mukama, ondokole, omponye olw'ekisa kyo, |
| 5 |
| kubanga abafu tebakujjukira. Ani alikutenderereza emagombe? |
| 6 |
| Okusinda kunkooyezza. Buli kiro nkaaba amaziga nga ndi ku kitanda kyange, obuliri bwange ne mbutobya n'amaziga. |
| 7 |
| Amaaso gange gakutteko ekifu olw'obuyinike. Gankambagga olw'abalabe bange bonna bankaabya. |
| 8 |
| Muve we ndi mwenna abakola ebibi, kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. |
| 9 |
| Mukama awulidde okwegayirira kwange, akkirizza okumpa kye mmusaba. |
| 10 |
| Abalabe bange bonna baliswala era balisoberwa, balivaawo mangu nga baswadde! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/006.mp3
150
6