EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde, Era tombonerereza mu busungu. |
| 2 |
| Onsaasire, ayi Mukama; kubanga amaanyi gampweddemu. Ayi Mukama, mponya, kubanga amagumba gange gankubagana. |
| 3 |
| Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo, Naye, ayi Mukama, olimala bbanga ki olyoke onnyambe? |
| 4 |
| Komawo, ayi Mukama, ondokole, Omponye olw'ekisa kyo. |
| 5 |
| Kubanga abafu tebakujjukira. Ani alikutenderereza emagombe? |
| 6 |
| Okusinda kunkooyezza. Buli kiro nkulukusa amaziga nga ndi ku kitanda kyange, Obuliri bwange bwonna ne mbutobya amaziga. |
| 7 |
| Amaaso gange gazimbye olwo kukaaba ennyo, Gankambagga olw'abalabe bange bonna abankaabya. |
| 8 |
| Muve we ndi, mwenna abakola ebibi, Kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. |
| 9 |
| Mukama awulidde okwegayirira kwange, Mukama akkiriza okusaba kwange. |
| 10 |
| Abalabe bange bonna baliswala ne basoberwa. Balivaawo mangu nga baswadde! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/006.mp3
150
6