×

Luganda Bible

Zabbuli 60

1
Ai Katonda, otusudde, otumenyeemenye; Wasunguwala; otukomyewo, tukwegayiridde.
2
Wakankanya ensi; wagyasa: Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.
3
Abantu bo obalaze ebigambo ebizibu: otunywesezza omwenge ogw'okutagatta.
4
Owadde ebendera abo abakutya, Eyolesebwe olw'amazima. (Seera)
5
Muganzi wo alyoke awonyezebwe, Lokola n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
6
Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
7
Gireyaadi wange, era Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
8
Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange: Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange.
9
Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu?
10
Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
11
Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
12
Katonda ye anaatukozanga eby'obuzira: Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga ku balabe baffe.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes