×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 60

1
Ayi Katonda otusudde, otumenyeemenye. Otusunguwalidde. Naye tukwegayiridde otukomyewo.
2
Okankanyizza ensi n'ogyasaayasa. Kaakati ziba enjatika zaayo, kubanga yeeyabyamu.
3
Abantu bo otulese ne tubonaabona nnyo, tutalantuka ng'abatamiivu.
4
Olabudde abakussaamu ekitiibwa basobole okuwona akabi.
5
Nziraamu kye nkusaba, otuwonye n'obuyinza bwo, baganzi bo tununulibwe.
6
Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu n'agamba nti: “Ndijaguza nga ngabanya mu Sekemu, ne ngaba ebitundu by'ekiwonvu Sukkoti.
7
Gileyaadi nsi yange, ne Manasse yange. Efurayimu ye nkuufiira yange, Buyudaaya gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
8
Mowaabu ye bbenseni mwe nnaabira. Edomu gye nkasukako engatto zange okulaga nti nsi yange. Mu Filistiya njogeza maanyi olw'obuwanguzi.”
9
Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani alintuusa mu Edomu?
10
Otuvuddemu ayi Katonda? Tokyatambulira wamu na magye gaffe ayi Katonda.
11
Tuyambe okulwanyisa omulabe, kubanga obuyambi bw'abantu tebugasa.
12
Nga Katonda ali ku ludda lwaffe tuliba ba maanyi. Ye alirinnyirira abalabe baffe.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes