Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi, otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli. |
| 2 |
| Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa; tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana. |
| 3 |
| Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo; tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza. |
| 4 |
| Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu, era akatiisa abalabe baabwe. |
| 5 |
| Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna. |
| 6 |
| Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti, “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu, era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu. |
| 7 |
| Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange; ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga. |
| 8 |
| Mowaabu kye kinaabirwamu kyange, ate Edomu gye nkasuka engatto yange: ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.” |
| 9 |
| Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu? |
| 10 |
| Si ggwe Ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala na magye gaffe? |
| 11 |
| Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa. |
| 12 |
| Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/060.mp3
150
60