Luganda Bible
|
| 1 |
| Owulire okukaaba kwange, ai Katonda; Olowooze okusaba kwange. |
| 2 |
| Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu. |
| 3 |
| Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe. |
| 4 |
| Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera) |
| 5 |
| Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange: Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo. |
| 6 |
| Olyongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka: Emyaka gye giriba ng'emirembe emingi. |
| 7 |
| Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna: Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye. |
| 8 |
| Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/061.mp3
150
61