Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, wulira okukaaba kwange, wuliriza okwegayirira kwange. |
| 2 |
| Nkuyita nga ndi wala n'ewaffe, era nga nterebuse. Ntwala mu kifo ekyesiifu, |
| 3 |
| kubanga ggwe kiddukiro kyange, ggwe w'amaanyi antaasa abalabe. |
| 4 |
| Ka mbeerenga mu weema yo ennaku zonna, nneekwekenga mu biwaawaatiro byo. |
| 5 |
| Owulidde bye nsuubizza, ayi Katonda, ompadde by'ogabira abakussaamu ekitiibwa. |
| 6 |
| Wanvuya obulamu bwa kabaka, awangaale emyaka n'emyaka, |
| 7 |
| afuge ng'ali mu maaso go ennaku zonna. Ayi Katonda, ggwe ow'ekisa era omwesigwa, mukuumenga, |
| 8 |
| ndyoke nnyimbenga okukutendereza ennaku zonna, nga ntuukiriza buli lunaku bye nsuubizza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/061.mp3
150
61