EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Emmeeme yange erindirira Katonda yekka; Oyo obulokozi bwange mwe buva. |
| 2 |
| Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange; Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nakatono. |
| 3 |
| Mulituusa wa okulumba omuntu, Okumutta, mmwe mwenna, Ng'ekisenge ekyewunzise, ng'olukomera oluyuuga? |
| 4 |
| Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba. Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima mu mitima gyabwe. |
| 5 |
| Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka; Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva. |
| 6 |
| Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange; Oyo kye kigo kyange ekiwanvu, sirisagaasagana. |
| 7 |
| Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange; Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda. |
| 8 |
| Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mumwanjulirenga byonna ebiri mu mutima gwammwe; Katonda kye kiddukiro gyetuli. |
| 9 |
| Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba; Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa. |
| 10 |
| Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga; Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo. |
| 11 |
| Katonda yayogera omulundi gumu, Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri; Nga Katonda ye nannyini buyinza; |
| 12 |
| Era ggwe, Ayi Mukama, ggwe olina okwagala okutuukiridde. Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/062.mp3
150
62