×

Luganda Bible

Zabbuli 63

1
Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya. Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
2
Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu, Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
3
Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4
Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5
Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
6
Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
7
Kubanga wabeera mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
8
Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9
Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi w'ettaka.
10
Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala: Balibeera mugabo gwa bibe.
11
Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes