×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 63

1
Ayi Katonda, ggwe Katonda wange, nkulumirwa omwoyo. Obulamu bwange bukwetaaga ng'ensi enkalu erakasidde, bwe yeetaaga amazzi.
2
Bwe ntyo neegomba okukulaba mu kifo ekitukuvu, ndabe nga bw'oli ow'obuyinza era oweekitiibwa.
3
Ekisa kyo kinkirira obulamu bwennyini. Nnaakutenderezanga.
4
Nnaakwebazanga obulamu bwange bwonna, nnaayimusanga emikono gyange nga nkusinza.
5
Nnaamatiranga ng'alidde obusomyo n'amasavu, ne nkutenderereza mu nnyimba ez'essanyu.
6
Nkulowoozaako ekiro nga ndi ku kitanda kyange. Nsisimuka ne nkujjukira,
7
kubanga onnyamba bulijjo. Nsanyukira mu kisiikirize ky'ebiwaawaatiro byo.
8
Nkwekwatako n'ompanirira n'amaanyi go.
9
Abagezaako okunzita baligenda emagombe.
10
Balittibwa n'ekitala, ebibe ne bibeeriira.
11
Naye kabaka alisanyuka, olw'ebyo Katonda by'akola. Buli alayira Katonda alyenyumiriza. Aboogera eby'obulimba baliggalwa akamwa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes