Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi. |
| 2 |
| Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo. |
| 3 |
| Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga. |
| 4 |
| Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo. |
| 5 |
| Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu. |
| 6 |
| Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro. |
| 7 |
| Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo. |
| 8 |
| Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira. |
| 9 |
| Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe. |
| 10 |
| Balisaanawo n’ekitala; ne bafuuka emmere y’ebibe. |
| 11 |
| Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/063.mp3
150
63