EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Katonda, ggwe oli Katonda wange; nnaakeeranga okukunoonya: Emmeeme yange erumwa ennyonta ku lulwo, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi. |
| 2 |
| Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu kifo ekitukuvu, Ndabe obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo. |
| 3 |
| Kubanga okwagala kwo okutuukiridde kusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga. |
| 4 |
| Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu; Nnaayimusanga emikono gyange ne nkoowoolanga erinnya lyo. |
| 5 |
| Emmeeme yange ennekkusibwanga ng'alidde obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'ennyimba ez'essanyu; |
| 6 |
| Nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Nnaakulowoozangako mu bisisimuka eby'ekiro. |
| 7 |
| Kubanga wabeeranga mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga. |
| 8 |
| Emmeeme yange ekunywereddeko okukugoberera; Omukono gwo ogwa ddyo gwe gumpanirira. |
| 9 |
| Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi mu ttaka. |
| 10 |
| Baliweebwayo okuttibwa ne kitala; Ebibe ne bibeeriira. |
| 11 |
| Naye kabaka alisanyukira Katonda; Buli alayira Katonda alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/063.mp3
150
63