Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Wulira ayi Katonda wulira bwe nkaaba. Kuuma obulamu bwange, nnemenga okutya abalabe. |
| 2 |
| Ggwe mponya entegeka ze bateeseza mu kyama, era mponya oluyoogaano lw'ababi, |
| 3 |
| abawagala ennimi zaabwe ng'ebitala. Ebigambo eby'obukambwe babireega ng'obusaale, |
| 4 |
| atalina musango bamulasize we beekwese. Bamugwako nga talaba, tebatya. |
| 5 |
| Mu kuteesa ekibi bagumyagana: bateesa we banaateeka emitego gyabwe mu kyama, ne bagamba nti: “Ani anaagiraba?” |
| 6 |
| Bateesa ekibi ne bagamba nti: “Entegeka eno gye tukoze, tewali kinaagirema.” Ebirowoozo by'omuntu mu mutima gwe munda, nga ddala bituuka wala! |
| 7 |
| Naye Katonda alibalasa n'obusaale ne bafumitibwa mbagirawo. |
| 8 |
| Alibazikiriza olw'ebigambo bye boogera. Bonna ababalaba balinyeenya emitwe. |
| 9 |
| Abantu bonna balitya ne balowooza ku ebyo Katonda by'akoze, ne boogera ku bikolwa bye. |
| 10 |
| Abakola ebituufu balisanyuka olw'ebyo Mukama by'akoze, bonna ab'omutima omulongoofu balimutendereza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/064.mp3
150
64