BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Eri omuyimbisa. Zabbuli ya Dawudi. |
| 2 |
| Ayi Katonda, wulira eddoboozi lyange nga neemulugunya; taasa obulamu bwange entiisa y'omulabe. |
| 3 |
| Ntaasa enkwe z'ababi, n'effujjo ly'abakola obubi, |
| 4 |
| Abawagala ennimi zaabwe ng'ebitala; abalasa ng'obusaale bwabwe ebigambo ebibalagala. |
| 5 |
| Balasa mu nkiso ataliiko musango; bamufumita mangu awatali kye beekengera. |
| 6 |
| Bagumyaŋŋana mu nkwe zaabwe embi; basalaasala ag'okutega emitego mu nkiso nga bagamba nti: “Ani anaatulaba?” |
| 7 |
| Bateesa kukola bubi, ne bagamba nti: “Tutegese olukwe olutuufu.” Ddala emmeeme y'omuntu n'omutima gwe tebyefumiitirizika. |
| 8 |
| Naye Katonda ajja kubakuba obusaale, mangu bajja kukubibwa. |
| 9 |
| Ennimi zaabwe zennyini zijja kubazikiriza; bonna abalibalaba balibanyeenyeza mutwe. |
| 10 |
| Buli muntu alikubwa encukwe; balirangirira Katonda by'akola, balyefumiitiriza emirimu gye. |
| 11 |
| Abatuukirivu basanyukire mu Mukama, baddukire gy'ali, na bonna ab'omutima omuluŋŋamu bamujagulizeemu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/064.mp3
150
64