Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange; okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe. |
| 2 |
| Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi, onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana |
| 3 |
| abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala, ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta. |
| 4 |
| Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase; amangwago ne bamulasa nga tebatya. |
| 5 |
| Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi ne bateesa okutega emitego mu kyama; ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?” |
| 6 |
| Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti, “Tukoze enteekateeka empitirivu.” Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu. |
| 7 |
| Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe; alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka. |
| 8 |
| Ebyo bye boogera biribaddira, ne bibazikiriza, ababalaba ne babanyeenyeza emitwe. |
| 9 |
| Olwo abantu bonna ne batya, ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda, ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze. |
| 10 |
| Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama, era yeekwekenga mu ye. Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/064.mp3
150
64