×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 64

1
Owulirenga eddoboozi lyange, Ayi Katonda, mu kwemulugunya kwange; Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe.
2
Onkweke okuva mu nkwe ez'ekyama ez'ababi, okuva mu ntegeka ez'abakozi b'obubi; N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu;
3
Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala, Abalagiriza ebigambo eby'obukambwe ng'obusaale,
4
Balasa mu kyama oyo eyatuukirira, Baamulasa nga talaba, ne batatya.
5
Bagumyagana emyoyo nga bateesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti, “Ani anaagiraba?”
6
Ani ayinza okunoonyereza ku misango gyaffe? Tulowoozezza ku ntegeka ennekusifu. Kubanga okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biba bye buziba!
7
Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n'akasaale nga tebalowooza.
8
Olw'olulimi lwabwe alibaleetako okuzikirizibwa, Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.
9
Era abantu bonna banaatyanga; Ne batendereza omulimu gwa Katonda, Ne balowooza n'amagezi bye yakola.
10
Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga; Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes