×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 65

1
Ayi Katonda, ogwanira ettendo mu Siyooni n'okuweebwa ebyakusuubizibwa.
2
Ayi ggwe awulira okusaba, abantu bonna balijja gy'oli
3
olw'ebibi byabwe. Ebibi byaffe ne bwe bituyitirirako, ggwe obitusonyiwa.
4
Wa mukisa oyo gw'olonda n'omusembeza kumpi abeerenga mu kifo kyo ekitukuvu. Tunakkusibwanga ebirungi eby'omu nnyumba yo, eby'omu Ssinzizo lyo ettukuvu.
5
Ayi Katonda Omulokozi waffe, otwanukula ng'otununula n'ebikolwa eby'entiisa. Abantu bonna ku nsi n'abali emitala w'amayanja beesiga ggwe.
6
Oli wa maanyi, era obuyinza bwo bwe bunyweza ensozi mu bifo byazo.
7
Osirisa okuwuuma kw'ennyanja, n'okw'amayengo gaayo. Osirisa okwegugunga kw'amawanga.
8
Abantu mu nsi zonna batya ebyamagero by'okola. Obajjuza essanyu okuva ku makya okutuusa olweggulo.
9
Ayi Katonda, olambula ensi n'ogifukirira, era n'ogigaggawaza nnyo. Emigga ogijjuza amazzi. Oteekateeka ensi bw'otyo, n'olabirira ebirime byayo.
10
Obulime bwayo obufukirira amazzi mangi ne bugonda. Ettaka olinnyikiza enkuba n'okuza ebirime byalyo.
11
Omwaka ogujjuza ebirungi byo, buli w'oyita olekawo ekyengera.
12
Amalundiro g'omu ddungu gakubyeko ebisolo obusozi bujjudde essanyu.
13
Amalundiro gajjudde amagana, n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano. Buli kintu kisaakaanya nga kiyimba olw'essanyu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes