BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Eri omuyimbisa. Zabbuli ya Dawudi. Luyimba |
| 2 |
| Ettendo likugwanira mu Siyoni, ayi Katonda, n'obweyamo gy'oli bujja kutuukirizibwa. |
| 3 |
| Ayi ggwe awulira essaala zaffe, gy'oli buli muntu gy'addukira. |
| 4 |
| Ebisobyo byaffe bwe byatuyitirirako, wabitusonyiwa. |
| 5 |
| Yeesiimye gw'olonda n'omusembeza, asule mu mbuga zo. Tulikkuta ebirungi by'omu nnyumba yo, eby'omu Kiggwa kyo ekitukuvu. |
| 6 |
| Otwanukula n'eby'entiisa by'obutuukirivu bwo, ayi Katonda, Omulokozi waffe, essuubi ly'enkingi z'ensi yonna n'ennyanja ez'ewala. |
| 7 |
| Ggwe eyabangawo ensozi n'amaanyi go, nga weekindikidde obuyinza, |
| 8 |
| Ggwe asirisa okuwuluguma kw'ennyanja, okuwuluguma kw'amayengo gaayo, n'okwegugunga kw'amawanga. |
| 9 |
| Abo abasula ku nkingi ez'ewala batya ebikuuno byo; oleetera okujaganya obuvanjuba n'obugwanjuba. |
| 10 |
| Olambula ettaka n'olifukirira; oliwa obugimu bwa kitalo. Omwala gwa Katonda gujjudde amazzi, liwe ensi eŋŋano; anti bw'oti bwe walitegeka. |
| 11 |
| Ofukirira empangi zaalyo, n'okuba amafunfugu gaalyo; oligonza n'oluwandaggirize, n'owa omukisa bye limeza. |
| 12 |
| Omwaka oguwoomesa n'ebirungi byo; obukubo bw'ebigaali byo butonnyolokoka omwero. |
| 13 |
| Amalundiro g'omu nkoola gatonnyolokoka, n'obusozi bwekindikidde essanyu. |
| 14 |
| Amalundiro gabukaddemu endiga; n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋano; bireekaana n'essanyu, wamma ne biyimba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/065.mp3
150
65