Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli. |
| 2 |
| Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo, abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe. |
| 3 |
| Ebibi byaffe bwe byatusukkirira, n’otutangiririra. |
| 4 |
| Alina omukisa oyo gw’olonda n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo; eby’omu Yeekaalu yo entukuvu. |
| 5 |
| Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna abali ewala mu nnyanja zonna, |
| 6 |
| ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo, n’ozinyweza n’amaanyi go, |
| 7 |
| ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja, n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo, era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga. |
| 8 |
| Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo; ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu okuva ku makya okutuusa akawungeezi. |
| 9 |
| Ensi ogirabirira n’ogifukirira n’egimuka nnyo. Emigga gya Katonda gijjudde amazzi, okuwa abantu emmere ey’empeke, kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka. |
| 10 |
| Otonnyesa enkuba mu nnimiro, n’ojjuza ebitaba byamu; n’ogonza ettaka, ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa. |
| 11 |
| Ofundikira omwaka n’amakungula amangi, ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko. |
| 12 |
| Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi, n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala. |
| 13 |
| Amalundiro gajjula ebisibo, n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke. Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/065.mp3
150
65