EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ettendo likulindirira Ayi Katonda, mu Sayuuni; Era gyoli banaawangayo obweyamo. |
| 2 |
| Ayi ggwe awulira okusaba! Bonna abalina omubiri balijja gy'oli, |
| 3 |
| okusinziira ku bibi byabwe. Okwonoona kwaffe bwe kunaatunyigiriza, Ggwe olikunaaliza ddala. |
| 4 |
| Alina omukisa oyo gw'olonda, era gw'osembeza gy'oli. Abeerenga mu mpya zo! Tunakkusibwanga ebirungi eby'omu nnyumba yo, eby'omu watukuvu mu Yeekaalu yo! |
| 5 |
| N'ebigambo eby'entiisa otwanukula mu butuukirivu, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe essuubi ly'enkomerero zonna ez'ensi, era n'ennyanja eziri ewala; |
| 6 |
| Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge, Nga yeesibye obuyinza; |
| 7 |
| Asirisa okuwuuma kw'ennyanja, Okuwuuma kw'amayengo gaayo, N'okuyoogaana kw'amawanga. |
| 8 |
| Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo; Ggwe aleetera okufuluma kw'enkya n'okwakawungeezi, okuyimba n'essanyu. |
| 9 |
| Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi; Obawa eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo. |
| 10 |
| Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa embibi zaayo, Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo. |
| 11 |
| Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; Ebigaali by'amagaali go bitirika amasavu. |
| 12 |
| Omuddo ogw'omu ddungu, gwanyiza, N'obusozi bwesiba essanyu. |
| 13 |
| Amalundiro gajjudde ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano; Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/065.mp3
150
65