|
| 1 |
|
| Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna: |
|
| 2 |
|
| Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye: Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa. |
|
| 3 |
|
| Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira. |
|
| 4 |
|
| Ensi yonna erikusinza, Erikuyimbira ggwe; Baliyimbira erinnya lyo. (Seera) |
|
| 5 |
|
| Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu. |
|
| 6 |
|
| Ennyanja yagifuula olukalu: Baayita mu mugga n'ebigere: Awo we twamusanyukirira. |
|
| 7 |
|
| Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera) |
|
| 8 |
|
| Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza: |
|
| 9 |
|
| Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana. |
|
| 10 |
|
| Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza: Watukema nga bwe bakema effeeza. |
|
| 11 |
|
| Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe. |
|
| 12 |
|
| Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga. |
|
| 13 |
|
| Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Naakusasula obweyamo bwange, |
|
| 14 |
|
| Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku. |
|
| 15 |
|
| Naakuwa ebyokwokya ebya ssava, N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume; Naawaayo ente n'embuzi. (Seera) |
|
| 16 |
|
| Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda, Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange. |
|
| 17 |
|
| Namukoowoola n’akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange. |
|
| 18 |
|
| Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire: |
|
| 19 |
|
| Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange. |
|
| 20 |
|
| Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe. |
|
|
|
|