×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 66

1
Ggwe ensi sanyuka otendereze Katonda.
2
Yimba okutenda ekitiibwa kye, omugulumize ng'omutendereza.
3
Gamba Katonda nti: “By'okola nga byewuunyisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemulukukira.
4
Bonna ku nsi balikusinza, bakuyimbire nga bakutendereza.”
5
Mujje mulabe Katonda by'akola, atiisa mu by'akolera abantu.
6
Ennyanja yagifuula olukalu, ne bagisomosa bigere. Tusanyukirenga by'akola.
7
Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna, ne yeekaliriza amawanga, abajeemu balemenga okwegulumiza.
8
Mmwe amawanga gonna mutendereze Katonda waffe, eddoboozi erimutendereza liwulirwe.
9
Atukuuma nga tuli balamu, era tatuleka kugwa.
10
Ayi Katonda, watugeza, watugeza nga ffeeza bw'agezebwa mu muliro.
11
Watuleka okuyingira mu kitimba, watutikka emigugu emizito.
12
Waleka abalabe baffe okutulinnya ku mitwe. Twayita mu muliro ne mu mazzi, naye wabituggyamu n'otutuusa mu kifo eky'emirembe.
13
Nnaaleeta mu nnyumba yo ebiweebwayo ne byokebwa. Nnaakuwa bye nakusuubiza.
14
Nnaakuwa bye neetema bwe nali mu buzibu.
15
Nnaakuwa ebyassava ebyokebwa. Nnaawaayo endiga eza sseddume n'ente n'embuzi byokebwe binyooke omukka.
16
Mwenna abassaamu Katonda ekitiibwa mujje muwulire, mbabuulire bye yankolera.
17
Namukoowoola annyambe, era nayimba okumutendereza.
18
Singa nalina ebirowoozo ebibi mu mutima, Mukama teyandimpulidde.
19
Naye ddala Katonda ampulidde, alowoozezza ku bye mmusaba.
20
Katonda yeebazibwe kubanga tagaanye kye mmusaba era akkirizza okunkwatirwa ekisa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes