|
| 1 |
|
| Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna. |
|
| 2 |
|
| Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye. Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta. |
|
| 3 |
|
| Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa! Olw’amaanyi go amangi abalabe bo bakujeemulukukira. |
|
| 4 |
|
| Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira, bakutendereza, bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.” |
|
| 5 |
|
| Mujje mulabe Katonda ky’akoze; mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu! |
|
| 6 |
|
| Ennyanja yagifuula olukalu. Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi, kyetuva tujaguza. |
|
| 7 |
|
| Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna; amaaso ge agasimba ku mawanga, ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera. |
|
| 8 |
|
| Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga; eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna. |
|
| 9 |
|
| Oyo y’atukuumye ne tuba balamu, n’ataganya bigere byaffe kuseerera. |
|
| 10 |
|
| Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza, n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro. |
|
| 11 |
|
| Watuteeka mu kkomera, n’otutikka emigugu. |
|
| 12 |
|
| Waleka abantu ne batulinnyirira; ne tuyita mu muliro ne mu mazzi, n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima. |
|
| 13 |
|
| Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa, ntuukirize obweyamo bwange gy’oli, |
|
| 14 |
|
| nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza; akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi. |
|
| 15 |
|
| Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava, mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume; mpeeyo ente ennume n’embuzi. |
|
| 16 |
|
| Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda, mbategeeze ebyo by’ankoledde. |
|
| 17 |
|
| Namukaabirira n’akamwa kange, ne mutendereza n’olulimi lwange. |
|
| 18 |
|
| Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange, Mukama teyandimpulirizza; |
|
| 19 |
|
| ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba. |
|
| 20 |
|
| Katonda atenderezebwenga, atagobye kusaba kwange, wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo! |
|
|
|
|